Vatican erangiridde nti Paapa Francis kati omugenzi, agenda kuziikibwa ku Lwomukaaga nga 26, April, 2025 ku ssaawa 4 ez’okumakya.
Enkya ku Lwokusatu, omulambo gwa Paapa, gugenda kutwalibwa ku ‘Basilica’ ya St Peter’s.
Omulambo gwa Paapa, gugenda kusigala mu St Peter’s okutuusa olunnaku lwaziikibwa, okusobozesa abantu omukubako eriiso evanyuma.
– Mu kiseera kino, omulambo gwa Paapa guli mu Santa Marta, amaka mwabadde okumala emyaka 12.
Okusabira omwoyo gwe, kugenda kubeera mu kibangirizi kya St Peter’s Basilica.
– Kugenda kulemberwamu akulira atendekero lya ‘Cardinals’ Giovanni Battista Re.
– Agenda kuziikibwa mu ‘Basilica’ ya St Mary Major, e Roma.
– Wadde bangi ku Bapaapa baziikiddwa Vatican, Paapa Francis yalaama atwalibwe e Roma.
Abamu ku bakulembeze abasuubiza okwetaba mu kuziika mwe muli
– Volodymyr Zelensky – Ukraine
– Donald Trump – America n’abalala – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=3s