Poliisi y’e Jinja ekutte omusomesa w’eddini ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, myaka 8 gyokka.
Abubakari Ngobi myaka 45 yakwatiddwa nga mutuuze ku kyalo Walukuba West ate nga musomesa ku Multiple Junior School mu kibuga Jinja.
Okunoonyereza, kulaga nti omusomesa yasobodde okweyambisa Kabalagala ne Juyisi, okusendasenda omwana okumutwala mu nju, okumusobyako wiiki ewedde ku Lwokuna nga 17, April, 2025
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kira-Jinja, James Mubi, omusomesa akebeddwa omutwe nga mulamu ddala era essaawa yonna, bagenda kumutwala mu kkooti.
Wabula abamu ku batuuze, bagamba nti omusomesa y’omu, aliko omwana gwe yasobyako mu disitulikiti y’e Kamuli era okunoonyereza kutandikiddewo – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=4s