Abavubuka okuva mu bibiina ebivuganya gavumenti eby’enjawulo abasazeewo okusala eddiiro okwegatta ku kibiina ki National Resistance Movement (NRM) nga bagamba nti basazeewo okukola kino oluvanyuma lw’obutafuna mirembe mu bibiina gye babadde.
Abavubuka bano abasukka 40 begatira mu kibina ki ‘Mwoyo gwa Uganda Ogutafa’ bavudde mu bibiina okuli Forum for Democratic Change (FDC), Democratic Party (DP) ne National Unity Platform (NUP) ekya Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) era kaadi zabwe baziwadde abakulu ababanirizza mu NRM.
Mu kwogerako eri bannamawulire, bagambye nti bakooye okubuzabuzibwa abantu abenoonyeza ebyabwe n’okutambuza obulimba era y’emu ku nsonga lwaki bakomyewo mu NRM ku lw’obukulembeze obulungi.
Mungeri y’emu bagambye nti 2021 balina okunoonyeza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akalulu kuba ye muntu omutuufu agwanidde okulembera eggwanga lino.
Ate ye amyuka ssentebbe wa NUP Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba agamba nti okwagala okukyusa obukulembeze mu ggwanga, y’emu ku nsonga lwaki yavudde mu DP, okwegatta ku NUP.
Mpuuga agamba nti mu 2021, NUP erina okusimbawo abantu ku buli kifo kyonna mu ggwanga.