Omubaka we Kawempe North Latif Ssebagala akulukuse amaziga ku ddwaaliro lya International Hospital Kampala (HIK) e Namuwongo, Kampala oluvanyuma lwa mukulu we Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala okufa enkya ya leero.
Ssebagala yagwa mu kinaabiro ku ntandikwa y’omwezi guno ogwa September, yalongoosebwa oluvanyuma lw’ekyenda okwesiba. Okuva lwe yatwalibwa mu ddwaaliro, abadde mu kasenge akajjanjabirwamu abalwadde abayi era nga tewali akkirizibwa kumulaba okuggyako mutabani we omu yekka Abdul Nasser Gamel Sebaggala.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku IHK, Latif Ssebagala agambye nti omugenzi abadde mukulu waabwe era babadde bamutwala nga taata kuba yeyasikira kitaawe Shaban Sharif Ssebagala.
Mungeri y’emu agambye nti Seeya Ssebagala abadde muntu wa bantu, mukwano gwa buli muntu era Famire ne ggwanga lyonna ligenda kumusubwa nnyo.
Latif Ssebagala era agambye nti mukulu we Seeya era abadde akose kinene okukyusa ebyobufuzi mu Uganda kwe kusaba Allah amusonyiwe ebyamusobako.
Latif akulukuse amaziga bw’abadde ayogera ku mukulu we Kati omugenzi Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala.
Latif akulukuse amaziga bw’abadde ayogera ku mukulu we Kati omugenzi Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala.
Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala yazaalibwa nga 15, November, 1947 era afiiridde ku myaka 72.
Vidiyo ya NTV