Poliisi y’e Bugiri ekutte ssemaka ku misango gy’okutta musajja munne olw’okumusigulira omukyala Fanisi Nabwire.
Ssemaka Esau Ouma nga mutuuze ku kyalo Buduma mu ggoombolola y’e Buluguyi yakwattiddwa ku by’okutta David Siminyu nga naye abadde mutuuze ku kyalo ekyo.
Okusinzira ku batuuze, Ouma yabadde agenze kuziika mu disitulikiti y’e Busia akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, kyokka yageenze okudda nga mukyala we taliwo.
Omutabani ku myaka 5, yasobodde okutegeeza kitaawe nti nnyina agenze mu nimiro ne Siminyu.
Ssemaka Ouma, yageenze okutuuka mu nimiro, ng’omukyala Nabwire yeegabudde dda, omusiguze Siminyu ali mu kusima zzaabu.
Olw’obusungu, yakutte ejjambiya era omusiguze yatemeddwa, kwe kumuddusa mu ddwaaliro lye Bugiri ng’ali mu mbeera mbi ate omukyala yadduse olw’okutaasa obulamu.
Wabula Siminyu afudde enkya ya leero nga bamuddusa mu ddwaaliro e Mbale era Ssemaka Ouma aguddwako emisango gy’okutta omuntu.
James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East agambye nti ssemaka Ouma atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Bugiri era akkiriza emisango gyonna.