Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akwattiddwa enkya ya leero.
Kyagulanyi akwattiddwa ku kitebe kya disitulikiti y’e Luuka wabadde akubye olukungana era Poliisi esobodde okweyambisa Ttiiyaggaasi n’amasasi mu bbanga okugumbulula abawagizi be.
Poliisi egamba nti Kyagulanyi abadde aggyemedde ebiragiro by’akakiiko k’ebyokulonda ng’alina abantu abasukka 200.
Afande Frank Mwesigwa, addumira Poliisi mu bitundu bye Busoga ne Bukedi n’okwekeneenya ensonga z’okulonda yakulembeddemu okulagira Kyagulanyi akwattibwe.

Aba NUP balina okuba enkungaana mu disitulikiti y’e Luuka, Kamuli ne Buyende okusinzira ku ntekateeka yabwe ey’olunnaku olwaleero.
Ebifaananyi bya Daily Monitor