Pulezidenti w’ekibiina ki Democratic Party (DP) Norbert Mao omu ku besimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino, alagidde bannamateeka ba DP okutwala omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool mu kkooti.
Mao alagidde bannamateeka nga bakulembeddwamu Luyimbazi Nalukoola, Bebe Cool okumutwala mu kkooti ku misango gy’okulemwa okuteeka mu nkola ebiragiro by’okulwanyisa Covid-19 mu bugenderevu.
Mu kiwandiiko kyafulumizza akawungeezi ka leero, Mao agambye nti Bebe Cool yegumbulidde okuba enkungaana za NRM nga Poliisi ekanula maaso.
Agamba nti Poliisi y’emu, ekulembeddemu okulemesa abali ku ludda oluvuganya okuba enkungaana nga berimbika mu kulwanyisa Covid-19, ekintu ekiraga obutali bwenkanya mu kuteekesa amateeka mu nkola.
Mao agamba nti okutwala Bebe Cool mu kkooti ng’omuntu, kigenda kuyamba nnyo okulaga nti okuteekesa amateeka mu nkola, tegalina kubaamu kyekubira.