Embeera eri mu kibuga kye Jinja, abawagizi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bayongedde okweyiwa ku nguudo okwekalakaasa okutuusa ng’omuntu waabwe ayimbuddwa.
Abekalakaasi, bali kumpi ne Poliisi y’e Nalufenya Kyagulanyi gye bamusibidde era ebyokwerinda byongedde okunywezebwa.
Abamu balabiddwako nga bookya ebipiira ebikadde ku luguudo lwa Jinja-Kamuli ssaako n’okutuula wakati mu kkubo mu ngeri y’okusomooza ebitongole ebikuuma ddembe.
Mu kiseera kino bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) nga bakulembeddwamu ssabawandiisi w’ekibiina Lewis Rubongoya ne bannamateeka abakulembeddwamu Anthony Wameli bali mu kusala mpenda mu ngeri y’okuggya Kyagulanyi mu kkomera.
Wabula omwogezi wa People Power Joel Ssenyonyi agambye nti Kyagulanyi okusigala mu kkomera y’emu ku nsonga lwaki obunkenke bweyongedde mu ggwanga lyonna.
Ssenyonyi asabye Poliisi okuyimbula Kyagulanyi oba okumutwala mu kkooti kuba okumusiba kigendereddwamu okutaataganya ennaku za Kampeyini ze.
Kyagulanyi yakutte bendere ya NUP ku bwa Pulezidenti wa Uganda mu kulonda kwa 2021.