Akulira ebyobulamu n’obujjanjabi mu kitongole kya Poliisi Dr. Moses Byaruhanga awuninkiriza eggwanga, bw’ategezezza nti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo n’olunnaku olwaleero bafunye abantu 16 abattiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago mu kwekalakaasa ng’abantu bawakanya, ekya Poliisi okusiba, Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ku Poliisi y’e Nalufenya.
Dr. Byaruhanga agamba nti abantu abattiddwa, kubaddeko kuliko abasajja 15 n’omukyala omu (1).
Mungeri y’emu agambye nti basuubira abantu okweyongera okufa okuva mw’abo abafunye ebisago ebyamaanyi.
Dr.Byaruhanga
Ate Nasser Kongora agamba nti muganda we attiddwa ku myaka 26 nga yasangiddwa mu kisenyi mu kyuma kya kasooli ng’ali ku mirimu gye ne bamukuba essasi.
Mungeri y’emu n’omukyala Maureen Nakazibwe omutuuze we Nansana agamba nti bba Peter Kintu yattiddwa wadde teyabadde mu kwekalakaasa.
Ku nsonga ezo, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agamba nti kituufu abantu 16 bebattiddwa ate abasukka 300 bakwattiddwa ku misango egy’enjawulo.