Ebyokwerinda binywezeddwa ku kkooti y’e Iganga wakati mu kulinda Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuleetebwa mu kkooti.
Kyagulanyi yakwattiddwa ku lunnaku Olwokusatu ku kitebe kya disitulikiti y’e Luuka bwe yabadde akubye laale era kigambibwa yabadde alina abantu abasukka 200, ekintu ekiyinza okutambuza Covid-19 n’okugyemera ebiragiro by’akakiiko k’ebyokulonda.

Okuva ku Lwokusatu, ali ku Poliisi y’e Nalufenya era yaguddwako emisango 3 omuli okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya obulwadde bwa Covid-19, okukuma mu bantu omuliro n’okukuba enkungana ezimenya amateeka.

Mu kiseera kino, omuntu yenna okuyingira kkooti, alina okufuna olukusa okuva eri addumira Poliisi mu bitundu bya Busoga Anatoli Katungwensi.
Bannamateeka ba Kyagulanyi nga bakulembeddwamu Anthony Wameri bali ku kkooti mu kiseera kino okulinda omuntu waabwe.

Mungeri y’emu ne Famire ya Kyagulanyi ng’ekulembeddwamu kabiite we Barbie Kyagulanyi, batuuse ku kkooti okwekeneenya embeera yonna.
Ekifaananyi kya NBS