Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Jinja ayimbudde munnakibiina kya NUP Muhammad Ssegirinya, eyesimbyewo okuvuganya ku ky’omubaka wa Palamenti Kawempe North.
Ssegirinya yakwattiddwa sabiti ewedde ku Lwokutaano okumpi ne Poliisi ye Nalufenya.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, sabiti ewedde ku Lwokuna nga 19, Ssegirinya yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okweyambisa ebigambo ebikuma mu bantu omuliro okwekalakaasa okutuusa nga Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayimbuddwa.
Mu kkooti enkya ya leero, omulamuzi Anne Kyomuhangi ayimbudde Ssegirinya kakalu ka kkooti ka miriyoni emu etali yabuliwo ne banne abamweyimiridde okuli babiri (2) miriyoni emu buli omu etali ya buliwo.
Ssegirinya wadde ayimbuddwa, omulamuzi amulagidde okudda mu kkooti nga 15, omwezi gujja ogwa December.
Wabula munnamateeka we Shamim Malende asabye omulamuzi Kyomuhangi okulagira ebitongole ebikuuma ddembe Ssegirinya okumuddiza ebintu bye omuli amassimu 2 aga smart phone, Ndaga muntu y’eggwanga, Paasipoota n’ebirala.