Gavumenti mu ggwanga erya Kenya eyongedde okumyumyuula nnatti mu ngeri y’okulwanyisa Covid-19 nga kivudde ku bantu okweyongera okulwala.

Mu biragiro ebiggya ebifulumiziddwa, abantu abalina embaga, tebalina kusukka bantu 50, abantu abagenda okuziika tebalina kusukka 100 ate emmere ewereddwa mu kuziika.

Abagenda okuziika, tebalina kusukka ssaawa emu (1) nga bali ku mikolo gy’okuziika, abagenda makkanisa tebalina kusukka ddakika 90 ate bonna balina okwambala masiki.

Mungeri y’emu Gavumenti esuubiza okwongera okuteekawo amateeka amaggya singa obulwadde bweyongera okusasaana.

Kenya yakafuna abalwadde 80,102, abaakafa bali 1,427 ate abali mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi bali 57.

Kinajjukirwa nti omukulembeze w’eggwanga eryo Uhuru Kenyatta yali azzeemu okulinyisa abantu abagenda ku mikolo gy’embaga mu Gwomunaana okuva 30 okudda ku 100.