Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Bwami mu Tawuni Kanso y’e Lwengo mu disitulikiti y’e Lwengo, ssemaka Emmanuel Kamanzi bwe yesse nga kivudde ku mutabani Ssalongo Mukasa George abadde amulabirira okufa.
Ssalongo Mukasa afudde mu kiro ekikeseza olwa leero nga ekimusse tekimanyikiddwa newankubadde waliwo abatuuze abagamba nti ayinza okuba afudde covid-19 ng’abadde ku ndiri okumala ennaku 3.
Oluvanyuma lwa Mukasa okufa, ssemaka Kamanzi myaka 50 yetugidde mu nju ye, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero.
Jamiru Mpiima omu ku baneyiba agamba nti wadde omutabani Mukasa abadde afudde, Kamanzi akoze nsobi okwetta.
Ate ssentebe wa LC ey’okusatu (LC III) mu disitulikiti y’e Lwengo Anthony Luwaga agamba nti abagenzi bombi Mukasa ne Kamanzi, babadde batuuze balungi ku kitundu kyabwe kyokka Kamanzi okwetta, yakoze nsobi okusalawo bwatyo.
Luwaga One
Wakati ng’afamire eri mu maziga, waliwo abatuuze abatidde okusembera awaka olwa ssemaka Kamanzi okwetuga ate nga n’ekisse mutabani we Mukasa tekimanyiddwa.
Wabula ssentebe Luwaga awanjagidde abatuuze, okuberawo ku lwa famire.