Akulira eddwaaliro ekkulu e Mulago Dr. Baterana Byarugaba asambaze ebyogerwa nti amyuka ssaabaminisita ow’okubiri Ali Kirunda Kivejinja myaka 85 ali mu mbeera embi.

Mu kusooka amawulire gasasaanye ku mikutu migatta bantu nti Kivejinja kati ze mbuyaga ezikunta era nga afudde Covid-19 mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Wabula okusinzira ku Dr. Baterana, kituufu Kivejinja ali mu ddwaaliro ekkulu e Mulago era tali mu mbeera mbi.

Dr. Baterana wadde agaanye okwatuukiriza ekirwadde ekitawaanya Kivejinja, agumizza eggwanga nti omuzeeyi akyali mulamu.

Dr. Baterana