Pulezidenti w’ekibiina ki Alliance for National Transformation (ANT) Gen. Mugisha Muntu alabudde abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe okulowooza ennyo nga tebannaba kweyambisa lyannyi mu Kampeyini ezigenda mu maaso mu ggwanga.

Gen. Muntu agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe okweyambisa amasasi, bayinza okutta omuntu omu ku besimbyewo, ekiyinza okutabangula eggwanga lyonna.

Anokoddeyo effujjo eryakoleddwa ku Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, bwe yabadde agenda okunoonya akalulu mu disitulikiti y’e Jinja, emmotoka ye ne bagikuba amasasi.

Gen. Muntu omu ku besimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okubindabinda okwa 2021 agamba nti Kyagulanyi singa yatuusiddwako obulabe, abawagizi be balivudde mu mbeera okutabangula eggwanga lyonna nga kivudde ku nneyisa y’ebitongole ebikuuma ddembe.

Asabye ebitongole ebikuuma ddembe okutambulira wansi w’akakiiko k’ebyokulonda mu kiseera kino okusinga okutambulira mu kumenya amateeka era abyogeredde mu disitulikiti y’e Nwoya enkya ya leero.