Ensisi ebuutikidde abatuuze ku kyalo Mutale mu disitulikiti y’e Kibaale, ssemaka bw’atemyeko omukyala omukono.

Tadeo Tumuhaise yanoonyezebwa ku misango gy’okwagala okutta mukyala we Rosette Kyomuhangi myaka 22 nga busasaana enkya ya leero.

Kyomuhangi wakati mu kulukusa amaziga n’okutonnya omusaayi, atwaliddwa mu ddwaaliro e Mubende kyokka oluvanyuma agiddwawo, okumusindika mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Okusinzira ku batuuze, ssemaka Tumuhaise yawasa Kyomuhangi emyaka egisukka 3 kyokka emyezi 2 egiyise, baafuna obutakaanya ne baawukana.

Wabula omusajja abadde alumirizza omukyala okuganza abasajja ab’enjuawulo oluvanyuma lw’okwawukana ate ng’abadde alina essuubi ly’okudingana.

Kigambibwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo omusajja Tumuhaise yasangirizza omukyala Kyomuhangi  ng’aliko omusajja gwe yabadde anywegera ng’emikono gisemberedde ebitundu by’ekyama, kwe kusalawo okudda mu kiro okumutemako omukono.

Wabula adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kibaale Esther Adeke, agambye nti Poliisi etandiise okusamba ensiko okunoonya omusajja Tumuhaise ku misango gy’okwagala okutta omuntu.