Abantu 10 nga kigambibwa bawagizi b’ekibiina ki National Unity Platform-NUP basindikiddwa ku limanda ku misango gy’okulya mu nsi olukwe .
Bano okuli Godfrey Katongole myaka (25) , Joel Lutankome (22), Charles Ssetooke (24), Abdullah Katumba (34), John Ssemakula (28) ne Godfrey Serugo (19).
Abalala kuliko Jovan Mubiru (18), Medi Mawanda (19) Steven Nsubuga (18) ne Ronald Kasinga (18) nga bonna batuuze mu Tawuni Kanso y’e Wobulenzi.
Bonna basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Luweero Doreen Ajuna era baguddwako emisango 5 egy’okulya mu nsi olukwe.
Omulamuzi bonna abasindise ku limanda mu kkomera e Sentema okutuusa nga 22 omwezi gunno ogwa December.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 18, omwezi oguwedde ogwa November mu kwekalakaasa ng’abantu bawakanya eky’okusiba Roobert Kyagulanyi Ssentamu, abakwate bakola effujjo mu tawuni Kanso e Wobulenzi omuli okwokya emmotoka ya Gavumenti namba UG 1313W, okwokya emmotoka endala UAJ 972X, okwokya kkooti esookerwako e Wobulenzi n’okuba omusirikale eyali akuuma ekifo Special Police Constable Hannington Sekajugo kyokka bonna tewali akkiriziddwa kubaako kyayogera.