Abakulembeze mu disitulikiti y’e Kyegegwa basobeddwa olw’abaana abato batikkiddwa embutto mu bbanga lya myezi 9.
Okusinzira kw’alipoota ya disitulikiti, okuva mu January okutuusa mu September 2020, baakafuna abaana abasukka 3,030 abatikkidde embutto wansi w’emyaka 20.
Alipoota eraga nti abaana abasukka 990 bali mu ggoombolola y’e Mpara era nga yekutte ekisooka, Tawuni Kanso y’e Kyegegwa eri mu kyakubiri n’abaana 443, ate ggoombolola y’e Ruyonza ne Kigambo balina abaana 170 buli emu.
Abamu ku batuuze bagamba nti abazadde okulemwa okuwa abaana ebyetaagisa n’obutafaayo, y’emu ku nsonga lwaki beggumbulidde okuganza abasajja abakulu.
Wabula Augustine Nyakabwa, omu ku bakulembeze mu kitundu ekyo, agambye nti abaana abasinze okufuna embutto bali wakati w’emyaka 16 ne 18 nga kivudde ku muggalo gwa Covid-19 ng’abamu tebalina ssuubi lya kudda ku ssomero.