Poliisi mu bitundu bye Kano mu ggwanga erya Nigeria ekutte omusajja omukadde ku bigambibwa nti abadde aganza abawala abato ng’abasuubiza okubawa emirimu.

Omukadde akwattiddwa ali mu gy’obukulu 60 ng’abadde yegumbulidde okuganza abawala wakati w’emyaka 20 kwa 25.

Kigambibwa, abadde alanga nga bw’agenda okutandikawo fakitole y’emmere nga yetaaga abakozi wakati w’emyaka 20 kwa 25 abalina amaanyi mu kutambuza emirimu.

Wabula abawala baludde nga bagenda kw’offiisi ye, okutwalayo ebiwandiiko byabwe kyokka ekyewunyisa mu offiisi ye, mubaddemu ekisenge eky’okubiri omuli ekitanda, okukyeyambisa mu nsonga z’omukwano.

Mu kiseera kino, abawala abasukka 20 bavuddeyo okulumiriza omusajja okubakozesa ng’abasuubiza emirimu kyokka nga mufere.

Ku bawala abasukka 20, 10 bagamba nti abadde yabasuubiza obwa Manejja, abasukka 5 bakole ku by’ensimbi ate 3 okulondoola entambuza y’emirimu.