Poliisi y’e Kabale ekutte omusajja Kenneth Bashabomwe myaka 27 ku misango gy’okubba pikipiki.
Omubbi mutuuze ku kyalo Nyakahanga cell mu ggoombolola y’e Bugongi mu Monicipaali y’e Kabale era bamukwattidde mu kibuga kye Kabale ne Pikipiki ng’eriko enamba enjigirire.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo Elly Maate, pikipiki yakyusibwa ennamba okuva mu 538U okudda mu 558H.

Maate agamba nti Pikipiki ebadde empya ate nga ennamba eriko enkadde, era omusajja olukwatiddwa, alemeddwa okuleeta ekiwandiiko kyonna okutuusa lw’akkiriza nti Pikipiki nzibe.
Maate agamba nti omukwate agenda kubayambako okuzuula banne abali mu bikolwa by’okubba Pikipiki.