Akwattidde ekibiina kya FDC bendera ku bukulembeze bw’eggwanga lino Patrick Amuriat Oboi akwattiddwa enkya ya leero ku ssaawa nga 4 bw’abadde ayolekera disitulikiti y’e Rubirizi okwongera okunoonya akalulu.
Amuriat akwattiddwa Poliisi y’e Bushenyi ebadde ekulembeddwamu Komakech era abadde akedde kunoonya kalulu mu disitulikiti y’e Rubirizi, Bushenyi ne Buhweju.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Greater Bushenyi Martial Tumusiime, Amuriat atwaliddwa mu disitulikiti y’e Mbarara ku misango gy’okugyemera amateeka.
Poliisi egamba nti ku lunnaku Olwokusatu nga 2 omwezi guno ogwa December, Amuriat yenyigira mu ddukaduka ne Poliisi mu kibuga kye Mbarara bwe yali aganiddwa okuyingira ekibuga okuba Kampeyini ze nga kiyinza okutataaganya emirimu gy’abasuubuzi.

Wabula Amuriat yasalawo okweyambisa bodaboda okuyingira ekibuga era wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, owa bodaboda yatomera adduumira Poliisi y’e Mbarara John Rutagira mu bugenderevu.
Olukwattiddwa, Amuriat agambye nti Poliisi emukutte okumulemesa okutuuka eri abantu era tewali muntu yenna ayinza kumutisatiisa.
Mungeri y’emu agambye nti wadde akwattiddwa, banne abali ku ludda oluvuganya abasabye okutambuza Kampeyini zaabwe okusinga okuteekawo embeera ey’okubalemesa okutuuka eri abalonzi.
Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi Samson Kasasira agambye nti Amuriat wadde akwattiddwa, Poliisi erina okunoonya owa bodaboda eyatomera DPC Rutagira ku misango gy’okuvugisa ekimama.
Eddoboozi lya Amuriat