Poliisi mu disiturikiti ya Bududa ng’ekulembeddwamu akulira ebikwekweto ebuvanjuba bw’eggwanga Abraham Asiimwe ekutte Kanyama wa Kyagulanyi Ssentamu Robert – Nobert Ariho.
Ariho abadde anonnyezebwa poliisi ku bigambibwa nti y’omu kubatambula n’ebissi mu ngeri emenya amateeka era bamukwattidde Bududa, Kyagulanyi gy’akedde okweyongera okunoonya akalulu.
Kigambibwa yalabikira mu katambi mu disitulikiti y’e Kayunga ng’aliko ttiiyagaasi gwakasuka mu bantu nga 1, omwezi guno ogwa December, eyaviirako abantu okulumizibwa omuli Polodyusa wa Kyagulanyi Dan Magic, omusirikale eyali akuuma Kyagulanyi ow’okulusegere ASP Wilfred Kato Kubai, n’abantu abalala.
Ariho awezezza omuwendo gw’abakanyama ba Kyagulanyi babiri abali mikono gya Poliisi ku ngeri y’okutwalira amateeka mu ngalo.