Ekiyongobero kibuutikidde eggwanga akawungeezi ka leero, abadde akulira ddaawa mu Uganda, Sheikh Nuhu Muzaata Batte bw’akutukidde mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo, gye yatwalibwa omwezi oguwedde ogwa November, 2020 ng’ali mu mbeera mbi.
Ekivuddeko Muzaata okufa tekimanyiddwa wabula entekateeka zikolebwa famire ssaako n’abasawo, okutegeeza eggwanga lyonna.
Okusinzira kw’amyuka Supreme Mufti Sheikh Muhamood Kibaate, bakyalinze okutegeezebwa ekivuddeko Muzaata okufa.
Ate Omuwandiisi w’omuzikiti gwe Kibuli Sheikh Muhamud Kigozi agambye nti Muzaata wakuziikibwa olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga e Kigoogwa ku luguudo lwe Bombo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kigozi agamba nti okuva ku ssaawa 4 ez’okumakya ku muziki e Kibuli, wageenda kubaawo okwogera okuva mu bakulembeze ab’enjawulo ssaako n’okusaalira omugenzi oluvanyuma ku ssaawa 7 ez’emisana, basiibule okugenda e Kigoogwa, gye bageenda okumuziika.

Eddoboozi lya Kigozi