Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akulukuse amaziga ku muzikiti e Kibuli mu kungubagira omugenzi Sheikh Nuhu Muzaata Batte eyafudde olunnaku olw’eggulo.

Bobi Wine atuuse e Kibuli nga zigenda mu ssaawa 6 ez’emisana wakati mu byokwerinda n’okusakaanya okuva mu bawagizi be.

Bw’ayitiddwa okwogerako eri abakungubazi, Bobi Wine agambye nti wadde eggwanga lifiiriddwa, naye ye afiiriddwa nnyo kuba Sheikh Muzaata abadde amutwala nga Kitaawe.

Bobi Wine alabiddwako ng’akutte akatambala okusangula amaziga wakati mu kwogera ebirungi ku mugenzi Muzaata.

Ng’omuntu omulala yenna, Muzaata abadde muntu w’abantu era abantu bangi bakaabye amaziga wakati mu kungubaga n’okusaalira omugenzi.

Wabula newankubadde Gavumenti eri mu kulwanyisa Covid-19, abakungubazi bangi bakoze emputtu era balabiddwako nga tebambadde masiki, abamu nga ziri wansi ku kalevu ate abalala wakati mu kiyongobero nga bagudde mu bifuba by’abantu abalala mu maziga.

Muzaata agenda kuziikibwa leero ku kyalo Kigoogwa ku luguudo lwe Bombo mu disitulikiti y’e Wakiso.