Poliisi ekutte sseduvuto myaka 27 ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 10.
Niwomugisha Alex nga mutuuze ku kyalo kye Katanga mu disitulikiti y’e Kikuube yakwattiddwa.
Kigambibwa Niwomugisha yalabirizza abazadde nga batambudde, okusendasenda omwana okumusobyako nga bw’akutte ssente shs 500 mu ngalo.
Omwana wakati mu kulukusa amaziga n’okutonnya omusaayi, yasobodde okutegeeza ku bazadde be era amangu ddala Poliisi yategeezeddwaako.
Okusinzira ku Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Niwomugisha akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.