Poliisi y’e Namutumba ekutte omukyala ku misango gy’okuviirako omwana okufa.

Omukyala Naigaga Eve yakwattiddwa, oluvanyuma lw’okusangiriza bba Mwanda Jerisomu ng’aliko omukyala gw’ali naye ku luzzi.

Kigambibwa omusajja yabadde aliko omukyala gw’asaba akaboozi, mukyala we Naigaga kwekumusangiriza ku luzzi.

Omukyala Naigaga yayagadde okusiba ebintu okunoba ekyavuddeko okulwanagana.

Wabula wakati mu kulwanagana, omusajja Jerisomu yakubye omwana myezi 7 Muwanguzi Gerald ekikonde era amangu ddala omwana yafiiriddewo.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti omukyala Naigaga akwattiddwa ayambeko mu kunoonyereza.

Eddoboozi lya Enanga