Poliisi eriko abavubuka 2 beeri mu kunoonya ku misango gy’okutta omuntu nga kivudde ku muwala okubatabula.

Abanoonyezebwa kuliko Okwale Micheal ne Inoga Yafeesi ku misango gy’okutta Okwale James myaka 22, nga bonna batuuze ku kyalo Olago mu disitulikiti y’e Tororo.

Okusinzira ku Poliisi, Okwale ne Yafeesi basse Okwale James ku bigambibwa nti abadde ayagala mukazi waabwe era kigambibwa abadde amutwala mu loogi okusinga omukwano okumala ebbanga.

Okwale James yakubiddwa emiggo era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro.

Wabula Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti Okwale ne Yafeesi baliira ku nsiko mu kiseera kino ku misango gy’okutta omuntu wabula Poliisi eyongedde okubanoonya.

Enanga alabudde abantu abakyakwana okweyambisa obugambo obusikkiriza abakyala okusinga okwenyigira mu kutta abantu.

Eddoboozi lya Enanga