Gavumenti mu ggwanga erya Mozambique eggadde amasomero 17 aga ‘primary’ ne ‘secondary’ olw’okugyemera ebiragiro wakati mu kulwanyisa Covgid-19.

Okusinzira ku mwogezi wa Minisitule ekola ku nsonga z’okulondoola Tomas Timba, ku masomero abayizi abamu basangiddwa nga tewali kwambala masiki, tewali kunaaba mu ngalo, basukkiridde obungi mu kibiina nga n’akamundu okwekebejja ebbugumu ly’abaana (thermometer) tebakalina.

Mungeri y’emu balambudde amadduka ag’enjawulo agasukka mu 216, 17 galagiddwa okuggalawo, wooteeri ezimu ng’abantu bangi, ekiyinza okutambuza obulwadde.

Gavumenti esuubiza okwongera okulawuna ebifo eby’enjawulo wakati mu kulwanyisa Covgid-19.

Mozambique yakafuna abalwadde ba Covid 16,373 nga yakafiisa 136.