Ensisi ebuutikidde abatuuze mu bitundu bye Kireka, abantu 2 webattiddwa mu kabenje enkya ya leero.

Okusinzira ku batuuze, akabenje kabaddemu emmotoka ekika kya Isuzu namba UAY 545F ne pikipiki namba UEF 765F ebadde evugibwa Musa Julius okumpi n’akatale k’e kireka.

Emmotoka ne Pikipiki zibadde ziva Mukono zonna okudda e Kampala.

Okusinzira ku Poliisi, Pikipiki eriko omukazi gw’ekoonye ebbali w’ekkubo, ekivuddeko okutagala ne bagwa mu kkubo, emmotoka nebalinnya.

Patrick Onyango
Patrick Onyango

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti basobodde okweyambisa kkamera eziri ku makkubo, okwekeneenya ekivuddeko akabenje era abafudde kuliko Musa Julius, abadde avuga Pikipiki nga mutuuze e Bweyogerere, Kireku mu Monicipaali y’e Kira n’omusabaze gw’abadde aweese ategerekeseeko erya Akanunaho.

Emirambo gitwaliddwa mu ggwanika e Mulago okwekebejjebwa nga Poliisi bweyongera amaanyi mu kunoonyereza ekivuddeko akabenje.