Omukyala Fatuma Nakiyuka ali mu gy’obukulu 35 eyakubiddwa emiggo abatuuze mu kiro, ku kyalo Bulanga mu ggoombolola y’e Namungalwe mu disitulikiti y’e Iganga afudde nga kivudde ku bisago ebyamutuusiddwako.
Nakiyuka yakubiddwa abatuuze ku by’okusaddaaka omwana James Kabaale myaka 7.
Mu sabiti 2 eziyise, omwana Kabaale yabiddwa okuva ewa jjajjaawe era omulambo gwe, gwazuuliddwa akawungeezi k’olunnaku olwe Mmande mu ssamba ly’ebikajjo mu disitulikiti y’e Mayuge nga gusaliddwa ku bulago, omutwe nga n’ebitundu by’ekyama binyigiddwa.

Taata w’omugenzi Joseph Kabaale, agamba nti akawungeezi k’olunnaku olwe Mmande, Nakiyuka yakulembeddemu olukiiko lw’ekyalo, okubatwala webasuula omulambo n’ebitundu ebirala, ebyali bisaliddwa ku mwana we.
Ate Ismael Lyirita omu ku batuuze, agamba nti Poliisi okulemwa okusiba Nakiyuka ku misango gy’okusadaaka omwana, y’emu ku nsonga lwaki abatuuze baavudde mu mbeera, okutwalira amateeka mu ngalo mu ngeri y’okufuna amazima n’obwenkanya.
Ate James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga agambye nti Poliisi eyingidde mu nsonga okwongera okunoonyereza n’okuzuula abatuuze bonna ku misango gy’okutwalira amateeka mu ngalo.