Abasirikale 2 bagiddwako emisango gy’okwenyigira mu kumenya ekkanisa y’omu Ndeeba mu Gwomunaana guno gwenyini omwaka ogwa 2020.
Abasirikale okuli adduumira Poliisi mu bitundu bye Katwe David Epedu n’akulira Poliisi y’e Katwe Mugira Kato Yeko, bagiddwako emisango gy’obulagajjavu n’okwekobaana n’abantu abasukka 20 nga bakulembeddwamu omugagga Dodoviko Mwanje okumenya ekkanisa.
Mu kkooti e Makindye, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu John Kunya lukwasiza omulamuzi Jude Okumu ekiwandiiko ekivudde eri ssaabawaabi wa Gavumenti ng’abasirikale bagiddwako emisango kyokka tewali nsonga yonna ewereddwa.
Mungeri y’emu oludda oluwaabi, lukoze enkyukakyuka ku misango egivunaanibwa Dodoviko ne bamuggulako ogw’okubba ebintu by’ekkanisa ebiri mu bukadde 850 nga 10 Ogwomunaana era omusango gwongezeddwayo okutuusa nga 14, omwezi guno ogwa December.