Gavumenti eri mu kutekateeka okuleeta etteeka okuziyiza abaana okwegadaanga nga bali ku massomero, ekivuddeko abayizi okulemwa okufundikira emisomo gyabwe.
Mu tteeke, omwana omuwala singa afuna olubuto, balina okunoonya omuyizi omulenzi, eyamuwadde olubuto, okumusiba n’okumulemesa okutuula ebigezo.

Okusinzira ku Rossette Nanyanzi, omukungu mu Minisitule y’ebyenjigiriza mu nsonga z’okuwa amagezi, abayizi abalenzi baludde nga begumbulidde okutikka abaana abawala embutto kyokka bo ne basigala nga basoma.
Nanyanzi agamba nti okulemesa abayizi abalenzi okutuula ebigezo, kigenda kuyamba nnyo okweddako mu kwerigomba ku bayizi nga bali massomero.
Mungeri y’emu etteeka ligenda kuyambako abayizi okufundikira emisomo gyabwe n’okubatangira okusasaanya obulwadde ku myaka emito.
Eddoboozi lya Nanyanzi