Poliisi y’e Kyotera ekutte abasirikale 9 ku misango gy’okutta omuntu sabiti ewedde ku Lwokutaano bwe baali bagumbulula abawagizi ba John Paul Mpalanyi munnakibiina kya DP eyesimbyewo okukiika mu Palamenti mu Konsituwence y’e Kyotera.
Mpalanyi yali akubye laale ku kisaawe ky’essomero lye Nakatoogo mu ggoombolola y’e Nabigasa.
Abasirikale 6 ku bakwattiddwa bakolera ku Poliisi y’e Kyotera era basindikiddwa ku Poliisi y’e Masaka ate 3 nga bonna bakuumi ba Minisita omubeezi owa Microfinance, Haruna Kyeyune Kasolo era omubaka we Kyotera basindikiddwa ku kitebe kya Poliisi e Naguru.
Mu ddukaduka, Richard Kayabula myaka 44 yakubwa essasi eryamutta wakati nga Poliisi egumbulula abawagizi ba Minisita Kasolo ssaako ne munne webali ku mbiranye Mpalanyi.
Ate abafuna ebisago omuli Mike Nalima myaka 20 nga mutuuze mu katawuni k’e Nakatoogo, Ester Nabbaale ali mu gy’obukulu 13 ng’ali mu kyamusanvu ku Nakatoogo Primary School ne Hakim Walukagga ali mu gy’obukulu 30 nga mulimi, bali mu ddwaaliro e Kalisizo.
Wabula adduumira Poliisi mu kitundu ekyo Enock Abaine agambye nti abasirikale bakwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza ku ngeri Kayabula gye yattibwamu.