Bya Nakaayi Rashidah
Katemba abadde mu kkooti ya Buganda Road mu Kampala enkya ya leero, abasajja 2 abaakwatibwa ku misango gy’obubbi, buli omu bw’abadde alumiriza munne mu maaso g’omulamuzi Gladys Kamasanyu.
Abasajja bano okuli Richard Muhigirwa ne Kaale John basimbiddwa mu kkooti nga basinzira mu kkomera e Kitalya ku nkola eya ‘Video Conferencing’ ku misango gy’okubba obukadde bwa ssente 20 ez’omusuubuzi Ben Mugisha mu Kampala.
Okusinzira katambi, akalagiddwa omusirikale Kinobe Ronald okuva ku kitebe kya Poliisi e Naguru, abasajja bombi bajja ssente mu mmotoka ekika kya Noah namba UAW 044G wakati mu kalipagano k’ebidduka ku Mini Price mu Kampala.
Mu kkooti, buli omu abadde alumiriza munne okuggya ssente mu mmotoka, ekiwaliriza omulamuzi Kamasanyu okwongezaayo omusango okutuusa nga 22, omwezi guno ogwa December, 2020.