Poliisi y’e Bugiri ekutte omusawo w’ekinnansi omugundivu Abbas Dholimala ku misango gy’okutunda emmundu.

Dholimala akwattiddwa ne muganda we Hakim Magumba mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi ne CMI ng’emmundu ebadde etundibwa obukadde 7.

Emmundu ebaddemu amasasi 28 era Magumba agamba nti yagibba ku kitebe kya Poliisi e Iganga nga 5, ogwokusatu, 2020.

Agamba nti oluvanyuma lw’okubba emmundu, yagitwala eri Dholimala okugikweka mu ssabo ku kyalo Kagali mu ggoombolola y’e Kapyanga okunoonya omuguzi ayinza okubawa ssente obukadde 10.

Okusinzira ku Poliisi, oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo emmundu etundibwa, baafunye omuguzi era Dholimala bwe yakkiriza okumusanga ku ssabo, Poliisi bwe yamukwattidde.

Wabula James Mubi omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga East agambye nti ekutte omusawo w’ekinnansi omugundivu Dholimala atwaliddwa ku Poliisi y’e Bugiri okwongera amaanyi mu kunoonyereza.