Omuyimbi munnansi we Nigeria eyazze mu Uganda okuba omuziki, Stanley Omah Didia amanyikiddwa nga Omah Lay asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya akawungeezi ka leero.
Omah Lay asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi esookerwako e Makindye Jude Okumu ne banne omuli Temilade Openyi ssaako ne Muyiwa Awomiyi ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19.
Omah Lay ne banne 2 aba Nigeria, bavunaanibwa ne bannayuganda 4 era bonna basindikiddwa ku limanda okutuusa ku Lwokusatu nga 16, omwezi guno ogwa December, 2020.
Omah Lay ne banne bakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ku bigambibwa nti ku Lwomukaaga ekiro, bakubye ekivvulu e Munyonyo, Kampala ekyakunganyiza abantu, ekintu ekiyinza okutambuza Covid-19.
Ku basindikiddwa ku Limanda kuliko abakyala 2 era bo basindikiddwa Kigo.