Minisitule y’ebyobulamu esambaze ebyogerwa ne biyitingana nti ebivvulu biguddwawo wakati ng’abantu basemberedde okulya ennaku enkulu.

Okusinzira ku mwogezi wa Uganda National Cultural Center, Robert Musiitwa ebivvulu byakuddamu nga 19, omwezi guno ogwa Desemba.

Mungeri y’emu agambye nti baasobodde okusisinkana Minisitule y’ebyobulamu ssaako n’abakugu abali ku ddiimu ly’okulwanyisa Covid-19, ne bakkiriza ebivvulu okuddamu wabula nga balina ogondera ebiragiro wakati mu kulwanyisa Covid-19

Obukwakulizo obwatekeddwawo kuliko abadigize tebalina kusukka abantu 200, ebivvulu bya misana okuva ku ssaawa 1 ey’okumakya okutuusa 1 eyakawungeezi, abadigize balina okwambala masiki, okunaaba mu ngalo nga bayingira ssaako n’okwewa amabanga nga Musiitwa,  bwalambuludde.

Eddoboozi lya Musiitwa

Wabula omwogezi wa Minisitule y’ebuobulamu Emma Ainebyona, agambye nti ebifo byokka omuzannyirwa katemba ziyite ‘Cinema’ byebikkiriziddwa okuddamu okuggulawo kasita bagoberera ebiragiro ebyayisibwa okutangira Covid okusasaana.

Ainebyona agambye nti ebbaala, ebivvulu byonna bikyali bigaale okutuusa nga Minisitule y’ebyobulamu, ekkiriza okubiggula era amawulire agayisiddwa ku bivvulu gabadde makyamu ddala.

Eddoboozi lya Ainebyona