Abakulu 4 abaddukanya essomero lya King’s Primary School e Kabowa mu Divizoni y’e Rubaga bakwattiddwa n’abasirikale 2 okuyambako mu kunoonyereza ku by’okufa kw’omwana myaka 13.

Kigambibwa nga 9, December, 2020, omuyizi eyabadde mu kibiina eky’omusanvu (P7) Atiel Beny Bol yaweddemu amaanyi ng’ali mu kibiina okutuusa lwe yafudde oluvanyuma lw’omusomesa w’essomo lya science okumukuba kibooko olw’okugwa ekigezo.

Abakwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza kuliko Direkita w’essomero Joseph Kiggundu, abasomesa 2 ssaako n’omukulu omulala omu nga kigambibwa baali ku ssomero ku lunnaku omwana lwe yafa.

Ate abasirikale kuliko Deo Wamakale, akulira okunoonyereza ku misango ku Poliisi y’e Kabowa n’omusirikale akulira okwekebejja ekifo ekibaddemu obuzibu ku Poliisi y’e Katwe Richard Anvuko.

Lt Col Edith Nakalema, akulira okulwanyisa obuli bw’enguzi mu State House eyaduumidde abantu abo okukwattibwa, agambye nti bagiddwako Sitetimenti, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Lt Col Nakalema agamba nti omwana yali amanyiddwa nti alina ekizibu ky’omutima kyokka omusomesa aliira ku nsiko mu kiseera kino yamukuba ekyavaako okufa kwe.

Mungeri y’emu abakulu ku ssomero baalemwa okutwala omusango ku Poliisi era y’emu ku nsonga lwaki bakwattiddwa.