Omulamuzi wa kkooti esookerwako ku City Hall mu Kampala Valerian Tumuhimbise ayongezaayo omusango gw’okulya mu nsi olukwe oguvunaanibwa munnamagye eyaganyuka Henry Tumukunde okutuusa omwezi ogujja nga 21, January, 2021.
Omulamuzi Tumuhimbise okwongezaayo omusango, kivudde ku ludda oluwaabi okulemwa okuwaayo empaaba yaabwe nga ewandiikiddwa, ku misango gy’okulya mu nsi olukwe n’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka nga bwe kyali kiragiddwa omwezi oguwedde.
Omulamuzi abadde alindiridde okusalawo okusindika omusango mu kkooti enkulu oba nedda ssaako n’okuwa ensala ye, ku misango gy’okutyoboola eddembe lya Tumukunde mu kiseera ng’ali ku limanda mu kkomera e Luzira.
Oludda oluwaabi, lugamba nti Tumukunde bwe yali akwattibwa nga 13, March, 2020 mu makaage e Kololo, yasangibwa n’ebyokulwanyisa omuli Pisito ne AK 47 mu ngeri emenya amateeka era mu nnaku ezo, bwe yali ku Ttiivi emu mu Kampala, yasaba eggwanga erya Rwanda okuyambako mu kukyusa obukulembeze mu ggwanga.
Mu kkooti, oludda oluwaabi lusabye omulamuzi okubongera akadde okuteekayo empaaba yaabwe nga ewandiikiddwa era omulamuzi abawadde okutuusa nga 7, January, 2021 okuwaako ne bannamateeka ba Tumukunde ssaako n’abo okuteekayo okwewozaako kwabwe nga 13, January, 2021, omusango guddemu okuwulirwa nga 21, January, 2021.
Tumukunde y’omu ku bantu 11 abesimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okubindabinda okwa 2021.