Gavumenti mu ggwanga erya South Africa erabudde ku bantu abatambula nga balwadde, ekigenda okuviirako abantu bangi okufa.
Okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu wakati w’omwezi Ogwomukaaga n’Ogwomusanvu, abantu bangi balwala ssaako n’okutambuza obulwadde, abamu baafa nga tebakimanyi.
Minisitule egamba nti mu kiseera kino Covid ayongedde okutambula eggwanga lyonna nga kivudde ku bantu okweyongera okulagajjala mu ngeri y’okwetangira n’okusingira ddala okunaaba mungalo wadde bagezaako okwambala masiki.
Gavumenti esuubiza okwongera amaanyi mu kwekebejja abantu n’okusingira ddala ebirimu abantu abangi ng’alipoota ziraga nti mu kiseera kino Covid ali ku bitundu 25 ku buli 100 mu South Africa yonna n’okusingira ddala mu bantu abakuliridde.
South Africa mu kiseera kino erina abalwadde abasukka 921,922 ate abaakafa bali 24,691.