Omusiguze awanjagidde ssemaka okumusonyiwa obutamutta oluvanyuma lw’okusangibwa ng’ali mu buliri e Mbarara mu divizoni y’e Omusikye Kyera.
Omusiguze wakati mu kulajjana agambye nti ye Mugenyi Jerome.
Ssemaka amusanze ali mu buliri nga tali mu mpale kyokka kigambibwa omukyala adduse bw’ategedde nti bba akomyewo.
Ssemaka bw’akutte effumu, Jerome asabye okusonyiyibwa era alabiddwako ng’akweka waaya eteeberezebwa okuba mu yiinki 6 olw’okutangira abaana ne ssemaka okugiraba obulungi.
Kigambibwa ssemaka akolera mu ggwanga erya Sudan era musajja mugagga kyokka bw’aba taliwo, omukyala abadde afuna abasajja ab’enjawulo olw’ennyonta y’omukwano.
Jerome atwaliddwa ku Poliisi y’e Nyamitanga kyokka oluvanyuma n’omukyala akwattiddwa era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti.
Vidiyo!