Abakozi ba Gavumenti 36 ab’enkizo mu disitulikiti y’e Mpigi, bazuuliddwa nga balina Covid-19 mu bbanga lya sabiti 2 zokka.
Okusinzira kw’akulira eby’emirimu mu disitulikiti y’e Mpigi, Moses Kanyarutokye mu kwekebejja abakozi okw’ekikungo, y’emu ku nsonga lwaki abasukka 30 bazuuliddwa nga balwadde.
Kanyarutokye agamba nti olw’abakozi okuzuulibwa nga balwadde, balina okukendeza ku muwendo gw’abagenyi ku offiisi ssaako n’abakozi abamu okweyongera okukolera awaka.
Ate Dr. Margret Nannozi, amyuka akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Mpigi, agamba nti Covid ayongedde okusasaana mu kitundu kyabwe wabula abantu obuteekebeza, bangi tebakimanyi nti balwadde.
Mungeri y’emu abamu ku bazuuliddwa nga balwadde kuliko n’abasawo ate abandibadde bayambako mu kujanjaba abantu.