Okunoonya emirambo gy’abantu abagudde mu nnyanja muttanzige (Lake Albert) ku Lwokubiri ekiro mu disitulikiti y’e Buliisa kukyagenda maaso n’okutuusa kati.

Abatuuze nga begatiddwako balubbira ssaako ne Poliisi bakazuula emirambo 14 kyokka waliwo abantu abakyabuze.

Emirambo 8 okuli egy’abaana 2 gyazuuliddwa ku Lwokubiri ekiro, ate emirambo 6 gyazuuliddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu okumpi n’ekizinga kye Wanseko.

Okusinzira ku bakawonawo, eryato kwabaddeko abantu abasukka mu 60 nga lyagudde mu mazzi okumpi n’ekizinga kye Songa-Lendu mu disitulikiti y’e Buliisa.

Eryato kwabaddewo abasuubuzi abasinga obungi nga bagenda mu katale ka buli sabiti ek’e Panyimur mu disitulikiti y’e Pakwach.

Kigambibwa eryato kwabaddeko abantu bangi ssaako n’ebintu, ekyavuddeko embeera okusajjuka kyokka bangi ku baawonye, baasobodde okuwuga okudda ku lukalu.

Poliisi ng’ekulembeddwamu Special police constable Rogers Businge agamba nti eryato okutikka akabindo, kiteeberezebwa nti y’emu ku nsonga eyavuddeko akabenje.

Ate Sgt Moses Nowamanya, omu ku baduukirize, agamba nti abantu abaatasiddwa, baatwaliddwa mu ddwaaliro lye Buliisa okufuna obujanjabi.

Ekifaananyi kya Daily Monitor