Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Kiboga Michael Bbossa aliko omuwala ali mu gy’obukulu 17 gw’asindise ku limanda ku misango gy’okutta omwana we.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Bushirah Nakanyike, nga 23, omwezi oguwedde ogwa November, ku kyalo Migongolomi mu ggoombolola y’e Kikonda mu disitulikiti y’e Kyankwanzi, omuwala yatta omwana we namusuula mu kabuyonjo.
Oludda oluwaabi, lusabye omulamuzi okuboongera akadde, okusobola okufundikira okunoonyereza ku misango gy’okutta omwana.
Omulamuzi Bboosa akkirizza okusaba kw’oludda oluwaabi, era omuwala asindikiddwa ku limanda okutuusa nga 8, omwezi ogujja ogwa January, 2021.
Wabula omuwala bwe yabadde awayamu naffe, yagambye nti olubuto lwavaamu kwe kusuula omwana mu ttooyi.
Agamba nti omwana yali mulamu kyokka yali asirise nga n’okumusuula mu ttooyi, tamanyi ngeri gye yakirowozaako.
Eddoboozi ly’omuwala