Munnamaggye amyuka omuduumizi wa Poliisi omuggya Maj Gen Paul Lokech agumizza Bannayuganda ku ky’okufuna okulonda okw’emirembe nga tewali muntu yenna, agenda kutabangula ggwanga.

Maj Gen Lokech bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, omulundi ogwe ogusoose bukya alondebwa okudda mu bigere bya Maj Gen Stephen Muzeeyi Sabiiti sabiti ewedde, agambye nti Poliisi eyongedde okwetekateeka okutangira effujjo mu kulonda okusembedde era awadde bannayuganda obweyamo ku nsonga y’emirembe mu biseera by’okulonda ssaako n’okulonda nga kuwedde.

Mungeri y’emu agumizza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda mu nnaku enkulu, ezigenda mu maaso mu kiseera kino, okubakuuma ssaako n’ebintu byabwe wamu n’okubayingiza omwaka omuggya ogwa 2021.

Maj Gen Lokech

Mungeri y’emu alambuludde byagenda okutangirako ng’amyuka omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga omuli okunyweza ebyokwerinda mu nnaku z’okulonda, bannayuganda okufuna ebyokwerinda essaawa yonna n’okutumbula enkolagana ya Poliisi n’abantu babuligyo.

Maj Gen Lokech Task