Poliisi y’e Kisoro eri mu kunoonya omwana ku misango gy’okutta mwana munne, olw’obutakaanya wakati waabwe.
Omwana Manirakiza Anthony myaka 17 yanoonyezebwa ku misango gy’okutta Ndikuyera Denis ali mu gy’obukulu 15, ku kyalo Rwaramba mu ggoombolola y’e Nyakinama mu disitulikiti y’e Kisoro.
Okusinzira ku batuuze, Manirakiza yakutte ejjinja nga bali mu katawuni k’e Nturo, ku ssekukulu kwe kulikuba munne, era yatwaliddwa mu ddwaaliro lye Mutolere ng’ali mu mbeera mbi gye yafiiridde nga 27, omwezi guno, ogwa Desemba.
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agambye nti Manirakiza aliira ku nsiko mu kiseera kino okuva ku Ssekukulu era aguddwako emisango gy’obutemu ate omulambo gwa Ndikuyera gukwasiddwa aba famire oluvanyuma lw’okwekebejjebwa, okuziikibwa.
Maate agamba nti balina okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko obutakaanya wakati w’abaana bombi.