Akulembeddemu ekibiina kya NUP ku bulembeze bw’eggwanga lino Robert Kyagulanyi Ssentamu awanjagidde bannabitone okwongera okuvaayo okwongera ku nsonga ezigenda mu maaso mu ggwanga.
Kyagulanyi agamba nti abayimbi, bannakatemba, okuvaayo okwogera ku nneyisa y’ebitongole ebikuuma ddembe omuli okutwalira amateeka mu ngalo omuli n’okutta bannayuganda,kabonero akalaga nti bazuukuse ku nsonga eziri mu ggwanga lyabwe.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya NUP e Kamwokya, Kyagulanyi agambye nti bayimbi okuvaayo ku nsonga ezigenda mu maaso mu ggwanga lyabwe, aludde ng’akirindiridde era nga kimuluma, okusirika obusirisi, ng’abantu battibwa.
Abamu ku bayimbi abavuddeyo ku nsonga y’ebitongole ebikuuma ddembe okutwalira amateeka mu ngalo kuliko Rema Namakula, Juliana Kanyomozi, A Pass n’abalala era y’emu ku nsonga lwaki Bobi Wine naye avuddeyo okubasiima.
Bobi Wine