Omuyimbi Eric Opoka amanyikiddwa nga Eezzy akkirizza okuddamu okuyimba oluyimba lwa ‘Tumbiza Sound’ okusaba bannayuganda okugoberera ebiragiro by’okulwanyisa Covid-19 mu ggwanga.
Sabiti 2 eziyise, Minisitule y’ebyobulamu yasaba ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ekya UCC okuwera oluyimba lwa ‘Tumbiza Sound’, ku bigambibwa nti mulimu ebigambo ebikuunga abantu okugyemera ebiragiro by’okutangira Covid-19 okusasaana.
Mu luyimba, Eezzy agamba nti Covid-19 talina kubalemesa kulya bulamu era Minisitule y’ebyobulamu erina okuteeka abantu mu Kalantini ennaku 14 nga bali mu bbaala okusinga okubatwala mu hoteero.
Enkya ya leero, abakungu okuva mu UCC, Minisitule y’ebyobulamu basisinkanyeko Eezzy ku kitebe kya UCC e Bugolobi era akkirizza okuddamu okuyimba oluyimba nga lukyusiddwa, okusomesa abantu okweyongera okugoberera ebiragiro by’okwetangira Covid-19.
Dickens Okello, omu ku bakulu abayambako Eezzy agambye nti Minisitule y’ebyobulamu esuubiza okuteekamu ssente zonna okufulumya oluyimba olupya.
Emmanuel Ainebyoona, omwogezi wa Minisitule y’ebyobulamu, agambye nti bagenda kuyambako omuyimbi okufulumya oluyimba olugenda okuyambako okusomesa abantu engeri z’okwetangira Covid.
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.