Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alajjanye nga bw’asaba abamu ku bayambi be okukubira kabiite we Barbie Itungo essiimu okuyambibwa.
Bobi Wine enkya ya leero akedde mu bitundu bye Kalangala okunoonya akalulu wabula Poliisi emulemeseza era akwattiddwa ne bamuteeka ku nnyonyi okumuzaayo mu makaage e Magere, Kampala.
Poliisi n’amaggye gazinzeeko Bobi Wine ne ttiimu ye nga bakatuuka e Kalangala era abamu ku bawagizi be bakwattiddwa, omukuumi we Edward Sebuufu kyokka oluvanyuma naye akwattiddwa.
Mu kiwandiiko ekiteekeddwa ku mukutu ogwa Face Book, Poliisi egambye nti olw’okuteeka mu nkola ebiragiro bya Minisitule y’ebyobulamu n’akakiiko k’ebyokulonda eby’okutangira Covid-19 okusasaana, Poliisi ebadde erina okulemesa Bobi Wine okukuba laale.
Wabula Poliisi bw’ebadde emukwata, asabye abamu ku bayambi be okutegeeza Barbie nti akwattiddwa asobole okumuyamba okukwasaganya emikutu gye egy’emitimbagano.
Vidiyo