Omuyimbi Ricky Man alidde eswagga bw’abadde ali ne muyimbi munne Lydia Jazmine mu kifaananyi.

Jazmine ne Ricky balina oluyimba ‘Good Night’ nga lwa mukwano era mu kukwata vidiyo, babadde balina okweyisa ng’abaagalana.

Mu ngeri y’okuggyayo obulungi amakulu g’oluyimba ate olw’omukwano, Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ekimu ku bifaananyi ebiri mu vidiyo.

Mu kifaananyi, Ricky ne Jazmine baggyeyo ekifaananyi ky’abantu abali mu laavu nga bagenda kwenywegera nga bali ddala mu mukwano.

Mungeri y’okulaga nti ddala bali mu laavu, Ricky abadde yenna asanyaladde kuba abadde alina okulaga nti ddala yetegese okusanyusa waaya.